Ab’oluganda lw’omupoliisi eyasibwa, Mohamed Kirumira ne ba puliida be bakonkomalidde ku kkooti ya Buganda road omuntu waabawe abadde alina okuleetebwayo olwaleero bwatalabiseeko. Kino kibaggye mu mbeera ne basaba Gavt ebannyonnyole omuntu waabwe gyali n’ensonga ebagaanye okumuleeta mu kkooti.