Abakulira amasomero bakunganye e Lugogo mu Kampala okusunsula abayizi abagenda mu siniya ey’okutaano omwaka guno. Wekunaggwera enkya ng’abayizi 204,469 bafunye ebifo mu masomero agatali gamu omuli n’amatendekero g’abasomesa ba primary, ag’ebyemikono n’amalala.