Bakirizza Ogw'obwa Sseduvutto

0
915

Kkooti mu nkola yaayo ey’okukendeeza ku misango ejigyetuumyeko emanyiddwa nga plea Bargain, nga muno omuntu akkiriza omusango gweyazza olwo kkooti n’emukendeereza ku kibonerezo, olwaleero esalidde ba ssedduvutto n’ababbi abakkirizza emisango ku bibonerezo byabwe n’ekigenderewa okyogwazisa abasibe abalala okwettanira enkola eno.
Abasibe abamu bajjiddwa ku kalabba akaali kaabasalirwa, ate abandi nebabakendeereza ku myaka gyebalina okumala mu busibe. Kkooti ebimu ku biruubirwa byayo mu nteekateeka eno kwekukendeeza ku mujjuzo mu makomera ate n’okwanguya emirimu gyayo.

More News