Bannayuganda Abakwagala Kati Bagenda Kenya

0
1256

Sipiika wa paalamenti Rebecca Alitwala Kadaga mweralikilivu enkola ey’okukecula ebitundu byabakyala eby’ekyama ogweyongera buli lukya mu Sebei ne Karamoja naddala mu district ebiri eye Bukwo ne Amudat.
Bwabadde asisinkanye abakungu okuva mu kitongole ky’esi yonna eky’obungi bw’abantu, ekya UNFPA Kadaga agambye nti oluvannyuma lwa Gavt okuwera enkola eno, abawala abamu mu bitundu bino batandise okwebbirira ne bagenda ku muliraano e Kenya okutuukiriza obuwangwa bwabwe kyebusaba.