Home News Amasengejje

Amasengejje

Catch our luganda news bulletin everyday at 7PM only on NBS tv.

Eggwanga lizuukukidde ku mawulire g’okufa kw’omu ku bayimbi ab’amannya, Moses Nakintije Ssekibogo owa Goodlyfe, amanyiddwa ennyo nga Mowzey Radio. Mowzey afudde bukya mu ddwaliro lya Case Hospital ku Buganda Road mu Kampala gyamaze ennnaku ng’ajjabwa oluvannyuma lw’okukubwa mu bbaala emu omwezi ogwedde.
Ababaka ba paalimenti abawakanya okukyusa mu ssemateeka okujjamu akawaagira akakugira omuntu azeeyuse okusukka emyaka 75 n’abo abakyali wansi wa 35, bakyakalambidde, nti kagwake keetonnye balina okulemesa enteekateeka za nrm. Okutandika ne wiiki etandika enkya, baagala kulumba ku paalimenti nga bali wamu n’abalonzi baabwe.
From the lifting of the presidential term limits to extension of the term limit as president Museveni says he has no problem if the term limit is extended from five to seven years The president’s submission comes as a confirmation that what began as a rumour from the corridors...
Pulezidenti Museveni ategeezeza gensonga y’okuggya ekkomo ku myaka gyomukulembeze weggwanga bwerina okusalibwawo bannayuganda kubanga beebalina obuyinza nga kino kyasuubira okutuukiriza Museveni yabadde asisinkaya akakiiko ka paalimenti akamateeka mu maka ge e Ntebe okubannyonnyola ku nsonga ezenjawulo mu byobufuzi byeggwanga naddala ennyingo 102b
Omuduumizi wa polisi ya Uganda General Kale Kayihura akuutidde bambega ba poliisi okukomya okutulugunyanga abantu bebakwata nga bateeberezebwa okuba abazzi b’emisango wabula bakozesenga obukugu obubatendekebwa okufuna bye baba babaagalamu. Bino abyogeredde ku ttendekero lya polisi erye kabalye e Masindi ng’asuibula abasirikale abamalirizza okutendekebwa.