Home News Amasengejje

Amasengejje

Catch our luganda news bulletin everyday at 7PM only on NBS tv.

Omuganda agamba nti atakulaba akunyoma naye olugero luno lutukira ku musajja mukulu Haji Ntege Ssebagala. Ssebagala abamulabako mu myaka gye kyenda ne nkumi bbiri olwaleero beebuuza gyeyabulira nabiki byakola. Haji Ssebagala yali muganzi nnyo mu Kampala nga bwalagira kibe ne kiba. Kibalizi John amuzudde emboozi n’egwa amakerenda.
Museveni akomawo mu Paalamenti.
Pulezidenti Museveni Agguddewo Olw'e Ntebe
Enggulo embaliriira ye ggwanga ey’omwaka 2018/2019 lweyasomeddwa. Abakugu mu byenfuna bagikubyeemu tooci era ne balagula ebinabaawo mu maaso.
Abakulembezze y’obusiramu e Iganga benyamidde olw’ettemu elisuuse mu ggwanga elitadde banansi ku bunkenke.
Okusaala okubadde ku mizigiti egyenjawulo mu Kampala kwetooledde nnyo ku ttemu erigenda mu maaso mu ggwanga n’omulanga eri gavumenti okukola ekisoboka okuvunaana abantu ssekinnoomu so si eddiini Omusasi waffe Amina Nabukenya abadde ku mizigiti egyenjawulo era bino byasanzeeeyo
Supreme mufti Shiekh Kasule Ndirangwa asabye Government okuteekawo okulonda kwwebyalo mubwangu okulwanyisa obutemu obweyongedde. Ate nomulangira Kasim Nakibinge avumiridde ekyokukwaata abantu nga tebasoose kubuuliriza ate oluvannyuma nebazuulibwa nga tebalina musango. Bino bibadde mukusaala Iddi e kibuli.
Ku lunaku luno olwa Eid, abakulembeze b’abasiraamu basabye Abebyokwerinda okuvunaananga omuntu ssekinnoomu aba yeenyigidde mu bumenyi bw’amateeka so ssi kugamba nti abasiraamu bebazizza emisango. Bino bibadde mu kusaala Eid El fitri abasiraamu nga bakomekkereeza ekisiibo kyabwe.
Mufti wa Uganda seeka Shaban Ramathan Mubajje awagidde ekya Gavumenti okutandika okugolola ettumba abakuumaddembe bonna abeenyigira mu bikolwa byokutabangula emirembe kubanga bano nabo baezaako kuzza ggwanga mabega. Mufti mubajje yennyamidde nti ettemu eririwo lisinga kunyigiriza basiraamu anti mu buli kikwekweto abasiraamu beebasinga okukwatibwa.
Ssemaka wamu nab’omunju ye BlL 6 bawereddwa obutwa abaana babiri ne bafirawo mbagirawo nga ye nabalala 4 baddusiddwa mu ddwaliro lya St. Francis Nagalama nga biwala ttaka. Okusinziira ku baddukirize abadusizza abantu bano mu ddwaliro kumakya ga leero,bagamba nti basanze ssemaka Walakira Hassan,mukyalwe Nabiryo Salima wamu nabaana babwe 4...
Olunaku lweggulo eyali Ssaabaddumizi wa Police Gen. Karekayihura yakwatiddwa olw’ensonga ezeetololera ku byokwerinda by’eggwanga. Kayihura yagobwa ku bwa Ssabaddumizi wa poliisi, mu kiseera ng’amaze okwongerwa ekisanja. Omukiise wa Butambala mu paalamenti Muwanga Kivumbi y’omu ku babaka abatuula ku kakiiko ka Paalamenti akavunaanyizibwa ku byokwerinda by’eggwanga. Ono agamba nti okukwatibwa...
Abamanyi bagamba nti omwezi omutukuvu ogwa Ramadhan Allah yagussa ku basiraamu nekigendererwa ekyokubawa omukisa okwenenya ate abasonyiwe ebyo ebiba byasoba. Naye bangi kati babala naku nti gugwako ddi, baddemu okwekola ekigenyi. Naye nga tonnaba kusagambiza bino bikulu.
Banamagoye wamu nabazadde abalina abaana abekika kino bekubidde endulu eri abobuyinza muggwanga okubawa obukuumi alwabantu ababakijanya NOKWAGALA okubasaddaaka. Bannamagoye Bano ababadde bajaguza olunaku lwabanamagoye munsi yonna ngebikujjuko ebikulu mu Uganda bibadde ku Busoga square mukibuga Jinja bagamba abantu bangi naddala abanonya obugagga babayigga okubatta oluusi nokutwala ebitundu byemibiri gyaabwe.
DR.Madiina Sebyla akulira IUIU eyabawala asomozeza ebitongole bya’obusiramu nti singa tebibako kyebikola dawa Ssiyakutumbuka.wano era akikirira Uganda mu Nsi zabuwalabu Dr.ssemuddu yahaya akutiide abayizi abasoma amasomo ga quran okwenweza kuba bolekedde okusoomwozebwa okutagambika Bino bitukidwako mukufundikira empaka zokusoma quran ezategekebwa salam tv wano mu kampala.
Abakulira amasomero gasomesa abaana abaliko obulemu ku mibirigyabwe mu bitundu bye Karamoja balajanidde gavumenti ebawe abasomesa abakugu mukusomesa abaana abaliko obulemu nabo kiyambeko mu kutumbula eby’okusoma mu kitundu kino. Abakulira amasomero gano bagamba nti obuzibu obusinze okubakosa mu kusomesa abaana bano kwe kuba nti tebalina basomesa batendeke mu mulimu...
Ekitongole ekiwooza ky’omusolo ekya Uganda Revenue Authority kitegeezezza nti amaaso kigatadde ku kampuni ennene okukunganya omusolo gw’obuse obusoba mu bubiri mumwaka gw’eyensimbi guno ogusigadde ko ennaku entono okufundikirwa. Nabakooza Lydia yalina ebisingawo
Tiimu ya URA eyanjude Sam Ssimbwa nga omutendesi wabwe ku ndagaano ya myaka essatu.
Abantu 5 bafiriddewo mbulaga mu kabenje akuguddewo mukiro ekikesezza olwaalerokuluguudooluva e Kampala okudda e Gulu mu BitunduebyeNakasongola. Kino kidiridde omuvuzi wa motoka ya promotion eya Kampuniya Pepsi bwekubye ekinya ekibade mu luguudo nelemelera omugoba waayo bwetyo netomera omuvuzi wa boda abadde awese muganda we bwentyo neyingilira emotoka ebadde ettise...
Police ye Mukono nga eduumirwa DPC Rogers Sseguya babukeerezza nkokola okugumba mu maka go mubaka wa palamenti owe Kibuga Mukono Betty Nambooze Bakirekke agasangibwa ku luguddo oludda e Nabuti ng’ eyagala mukwatta atwalibwe abeeko byabuzibwa ku byekussa kukutibwa kwo mubaka wa Arua minisipality Ibrahim Abiriga. Police amaka ga Nambooze...
Abantu be lyatonde naddala ku kyalo kasagama basiibye bekuba obwaama olwa amaggye agabadde mu makka g’eyali omudumiizi wa poliisi gen. Kale Kayihura.Naye oluvanyuma lw’okulindira ebbanga nga tebalaba kivaayo,ennyonyi namunkanga eyamaggye eggye Ge. Kayihura mu maka ge n’emuleeta ku kitebe ky’amaggye e Mbuya.