Home News Amasengejje

Amasengejje

Catch our luganda news bulletin everyday at 7PM only on NBS tv.

Abakulembeze mu FDC balangiridde nti bagenda kuddamu okwekalakaasa nga bwegwali ku 2011 mu nkola ya walk to work, eyamaamira eggwanga. Bano bagamba, ekigenda okubazza ku nguudo gy’emisolo egyeyongedde mu ggwanga nga kati y’emboozi enyumizibwa buli wamu, ate nga mugugu omuzito ennyo eri bannansi. Dr. Kizza Besigye eyawatira ekibiina kino...
Nate okusika omuguwa kutandise okulengerwa mu kitongole ekifuga Kampala ekya KCCA oluvannyuma lwa loodi mmeeya erias Lukwago okuttukiza kaweefube we owokulagira gavumenti eggyewo ofiisi ya Minisitule ya Kampala mu kiseera kino ekulemberwa Beti Kamya ngagamba eno terina mulimu. Lukwago talumbye ofiisi ya Kamya yokka wabula ayagala ne ofiisi ya...
Ekikangabwa kibutikidde abatuuze be Masajja Kibiri mutuuze munaabwe bwakidde omwana we namutta, nateemateema omukazi n’oluvanyuma naye neyegya mu bulamu bwensi eno. Abatuuze bagamba nti abagalana ababiri babadde batutte ebbanga nga balina obutakanya kubigambibwa nti omukazi abadde ateteera nabasajja abalala.
Gavumenti ekkiriza okussa munkola ebizze bisabibwa ab’oludda oluvuganya gavumenti nga neekisookerwako kwekukola ennongoreza mu mateeka g’okulonda, buli muntu yeyagalire mu demokulasiya ww’eggwanga lino.
Poliisi y’eggwanga yeeyamye okuzimba ebitundu by’ennyumba ebyamenyese gattako n’okuzzaawo akasolya kaayo akaayononeddwa ennyonyi ya police ku lunaku olwa balaza e Mutungo, Bbiina. Omwogezi w’ekitongole kino Andrew Felix Kaweesi ategeezezza nti wiiki eno w’enaggweerako, nga bategedde obungi bwa ssente bw’ebintu ebigenda okuzzibwawo.
Omukyala eyasuula omulimu gwobusomesa n’asalawo okwekozesa kati nga atambulira ku kagaali okusobola okukakalabya emirimu gye awunikiriza abatuuze mu Luweero, era nga obusozi obulema abasajja tabulabamu abuvunuka ng’ali ku museeto. Ono asotta akagaali kilomita ezisoba 40 buli lunaku okugenda okulima n’okudda bwatyo.
Poliisi eyingidde mu nsonga z’eddwaliro lya Kookolo e mulago oluvannyuma lwokutemezebwako nti ensimbi ezibulankanyizibwa mu ddwaliro lino mpitirivu nga n’abakozi abempewo bateevuunya nga munyeera mu ddwaliro lino Kino kiddiridde omuntu omu okutemya ku poliisi ku bufere buno obulese bannayuganda bangi nga bawanjaga
Bannakyewa beewolerezza ku byokuwaana akalulu k’e Kenya ate kkooti neekasazaamu ng bo bagamba nti beeyogerere ebyo byebaalabako.
Ebikumi nebikumi by’abantu mu district ye Teso byolekedde okutondoka olw’enjala gwomuwadde akatebe eyalumba ekitundu ekyo oluvannyuma lw’ekyeya ekibakubidde ebbanga. Okusinziira ku musasi waffe Bahati Remmy, olwaleero weruzibidde nga omukazi omu entamu eyiye bavuunise oluvannyuma lwenjala okumulumira ebbanga nga talina kazza eri olubuto.
Ekitongole ekuvunanyizibwa ku byempuliziganya ekya Uganda Communication Commission kitandiise okunonyereza kubigambo ebyayogerwa eyaali mbega wa gavumenti Charles Rwomushana ku NBS TV nti ababaka ba paalamenti abakyala baling bamalaya. Minista w’ebyamawulire ne technologiya Frank Tumwebaze yategezeza palamenti ensonga eno mulutuula olukubiriziddwa amyuka sipiika Jacob Oulanya akawungezi kaleero.
Ababaka ba paalamenti abaawakanya okuggya ekkomo ku myaka omuntu kw’alina okukoma okwesimbawo batutte okujulira waabwe mu kkooti ejjulirwamu nga bawakanya okusalawo kwa kkooti etaputaputa ssemateeka kweyakola nga 26 Ogwomusanvu omwaka guno. Bano nga bayita mu bannamateeka baabwe okujulira kuno bakwesigamizza ku nsonga 24 zebataamatira mu nsala ya kkooti etaputa...
Kkooti enkulu e Mbale esazizzaamu okulondebwa kwa minisita Sarah Opendi, ku kifo ky’omubaka omukyala owa disitulikiti ey’e Tororo oluvanyuma lw’okukikakasa nti akalulu kano kaalimu emivuyo mingi. Munna NRM Ayo Jacinta yeyawawabira Opendi nga awakanya okulondebwa kwe era obujulizi bwe bukakasizza omulamuzi Margaret Ouma bwa n’alagira akalulu kano kaddibwemu. Sarah Opendi ye...
Abasawo okudduka mu Uganda nabamu okuba ng’emirimu bamala gekolera, kigambibwa nti kiva ku nsasula embi, kakati Omukulembeeze wa Uganda YKM bano abawadde amagezi, nti baleke kukaaba bwaavu akadde kona, saako omusaala omutono, naye bakoole saako mwebajja okubateera ssente ez’okwewola begobeko obwavu. Ono akakasiza nti omwaka gw’ebyensimbi ogujja saako bagya...
Abako ababadde batutte omulambo gwa mukyala waabwe gyazaalwa okumuziika, bakiguddeko ab’oluganda lw’omugenzi bwebabakkakkanyeeko ne babakuba emigo egibatuusizza ku bitanda. Ab’oludda lw’omugenzi………babadde balumiriza abako okutta omwana waabwe era okukkakkana nga n’omufu alemedde ku ngulu. Farish Magembe bino abiggye Bukomasimbi.
Amasasi aganyoose mu Kampala, era gano gagambibwa okuba nga galiko abantu babiri begakutte okubadde omukazi n’omuvubuka, abatuuze b’e Katwe okuliraana ekibuga Kampala. Abasasi ba NBS webatuukidde e Katwe ng’oluguudo oluyingiza emmotoka eziva e Ntebe olutavaako kalippagano, lwonna lukalu lusigaddeko poliisi na magye.
Abazadde b’essomero erimanyiddwa nga Senda Primary School erisangibwa mu gombolola y’e Kirewa mu district ey’e Tororor nga bamulanga okwebulankanya nga ku ssomero. Omukulu ono abazadde gwebanaabidde mu maaso ategeereke nga Odoi bamulumiriza obutabeera mu wofiisi nga ne ku ssomero takyasulawo, yafuna ewalala wasula.
Bangi mu kiseera kino bali mu kujaganya olwokuyita ebigezo by’omwaka 2016, era abasasi baffe batalaaze amasomero agenjawulo era bino byebasanzeyo.
Abakatoliki okuva mu ssaza ly’erezia ekkulu ery’e Tororo nga bebateesiteesi b’ebikujjuko by’okukuza olunaku lw’abajulizi, olwaleero basimbudde okuva ewaabwe okwolekera Namugongo. Abantu nga 300 bebatandise olugendo luno era olwaleero baluubirira kusula Busitema gyebanaasisinkana n’abanaaba e Busia, boolekere manugongo.