Amasengejje

Catch our luganda news bulletin everyday at 7PM only on NBS tv.

Enkola ey’okunaaba mu ngalo ly’elimu ku ssomo omuntu yenna lyayiga okuviira ddala ku myaka emito era nga amasomero ggo gajjukiza bujjukiza ekyo abazadde kyebayigirizza abaana baabwe. Naye abaffe abaana bayigirizibwa kyenkana ki kun kola eno ey’okunaaba mungalo? Yye abaffe, bazadde bameka n’abasomesa bameka abalondoola abaana okukakasa nti ddala abaana bayize era...
Akulira kkooti etapputa Ssemateeka Omulamuzi Steven Kavuma ayimirizza Palamenti okuteesa kunsonga z’akasiimo ak’obuwumbi omukaaga akaaweebwa abakungu a 42 nga Pulezidenti abasiima okuwangulira Uganda omusango gw’amafuta. Omulamuzi Kavuma era ayimirizza emikutu gy’amawulire ggyonna wamu ne Bannayuganda bonna okukomya okwogera kunsonga zino okuva leero. Bino byonna bidiridde Munauganda Eric Sabiiti nga y’akulira ekitongole...
Akulira kkooti etapputa Ssemateeka Omulamuzi Steven Kavuma ayimirizza Palamenti okuteesa kunsonga z’akasiimo ak’obuwumbi omukaaga akaaweebwa abakungu a 42 nga Pulezidenti abasiima okuwangulira Uganda omusango gw’amafuta. Omulamuzi Kavuma era ayimirizza emikutu gy’amawulire ggyonna wamu ne Bannayuganda bonna okukomya okwogera kunsonga zino okuva leero. Bino byonna bidiridde Munauganda Eric Sabiiti nga y’akulira ekitongole...
Abakulembeze okuva mu Businga bwa Rwenzururu eggulo beesozze akafubo n’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni mu maka g’obwa Pulezidenti e Nakasero mwebaasinzidde okwetondera omukulembeze w’eggwanga ku ebyo ebyaliwo mu November w’omwaka oguwedde akasambattuko kalyoke kabalukewo mu bitundu ebyo akafiiramu abantu abawera e 100. Abakulembeze bano bakkirizza nti ensobi zaakolebwa nti era...
Omukago omwegattira ebibiina by’obwannakyewa ogwa NGO Forum guteekateeka kukuba kakiiko ka byakulonda mu mbuga ssinga bategeka okulonda kw’obukiiko bwebyalo nga kwa kusimba mu migongo gyabeesimbyewo. Gavumenti yavaayo netegeeza nga bwetalina ssente zikubisa bukonge mu kulonda kwa ba ssentebe nga ekisigalidde kyokka kya kusimba mu mugongo.
Bannakibiina ki FDC bakalambidde ku kiteeso ky’okulonda abakulembeze ku byalo ng’abalonzi basimba nnyiriri emabega waabo abeesimbyewo. Bano bagamba nti enkola eno yadibizibwa, ate era kuba kumalako bantu ddembe lyabwe. Bongeddeko nti okusimba ennyiriri mu migongo gyabeesimbyewo kijja kulemesa abantu bangi okukuba akalulu kaabwe olw’okutya ebiddirira oluvannyuma lwokulonda ate ng’era...
Omubaka wa municipaali ye Mukono Betty Nambooze Bakireke alangidde omukulembeeze wa Uganda YKM nti yabasibyeko ebikola ebyobulogo e Mukono, olw’okuvujirira abasamize ensimbi. Nambooze abadde ku mukolo abakulembeeze b’ekibuga ky’emukono nebanaddini kwebasinzidde okusabira ekibuga ku bikolwa ebikyamu ebifumbekdde e Mukono, ng’obusamize.
Ekyeya ekibeyenze ebitundu eby’enjawulo mu ggwanga kyandyeyongera okutabangula embeera singa gavumenti tevaayo n’eyamba bannansi oba Lugaba okubaddiramu. Mu bitundu by’e Busoga naddala mu disitulikiti y’e Luuka, abaayo batandise okutunda byebalina basobola okugula ak’okuzza eri omumwa. Wabula ate omujaasi akulira NAADs e Luuka afuuse kasobeza bwakawangamudde nti e Luuka abaayo bakabya kajanja.
Wabaddewo akasattiro ku minisitule y’ebyobulamu ng’abazinya moto bakola butaweera okuzikiza omuliro ogwononye ebintu mu wofiisi ttaano. Omuliro guno ogugambibwa okuba nga gutandikidde mu fumbiro gukutte eggulo lyaleero, naye poliisi ekoze butaweera okukakasa nti tegulanda kukwata wofiisi ndala, naye ekivuddeko omuliro kikyali kya matankane.
Enkyukyuka nyingi ezize mubyobulimi n’obulunzi naye abalimi na abalunzi abasinga tebanakyuka. Abakungu ate abanonyeleza nga bano bamala emisomo gyabwe egy’obulimi n’obulunzi kuva mu tendekyoro ekkulu erya Makerere bagamba nti banji ku balimi mu Uganda baganye n’okwetanira tekinologiya aliwo mu bulimi, nebamaliriza nga bevuma obulimi.
Nazikuno ng’omwana yenna omuwala bwafumbirwa nga simberera n’ebakadde be bafuuka kyakusekererwa ku kyalo, anti kyalaga nga nti tebasobola kukuza baana bulungi, naye ebyenaku zino, abawala abamu okuwulira munabwe nti akyali mberera nokumusekerera baseka, abaffe omwana okufumbirwa ng’akyali mberera kikyalina amakulu ku mulembe guno.
Okuyiwa omusayi waamu nobunkenke mukitundu kye Kasese byandyeyongera, oluvanyuma lwa Robert Tibamwenda II okulalika nga bwagenda okutuzibwa kubukulembeze bwa babakonzo omwezi ogujja elanga ne entekateka zokumutuuza zozigenda mumaaso. Nga ono ekitibwa kye agenda kuyitibwa ‘Omwami” ela asambaze ebibabdde byogerwa nti gavumenti yeri emabega wentekateka ziino.
Alipota efulumziddwa ekibiina ky’obwanakyewa ekikola ogwokulwanyisa obutabanguko mu maka naddala kuludda olwa basajja eraze ng’omuwend gwa basajja abatulugunyizibwa buli mwaka bwegweyongedde ennyo. Kino kyeyolekede nyo kumuwendo gwabasajja abatuluunyiziddwa mu biseera ebyenaku enkulu bweguli waggulu ennyo okwawukana ku myaka egiyise.
Eby’okusindikiriza abantu nga babajja ku ttaka mu bitundu bye Bunyonyoro, omukubiriza w’olukiiko bimututte kanaguluba mu kitundu kino, era asinzidde eno nakangula ku ddoboozi saako n’okulagira minister webyensimbi nti wakiri afune ensimbi okuva mu ggwanika lya Gavumenti Gavumenti egule ettaka mu bitundu bino abantu baleke kusindikirizibwa.
Okulunda obumyu wano mu Uganda kwabanga kwa baana bato era nga baabulundanga kunyumirwa naye kati gwafuukira ddala mulimu ogugagawaza abantu abamu. Fatia Nassali awayizzaamu n’abamu ku balunzi b’obumyu ne bamutendera ebirungi byebafunyeemu .
Bannakyewa balangidde abakungu ba Gavumenti abasalawo okwegabanya ezamafuta obuluvu nobutalumirirwa nsi yaabwe etubidde mu bizibu. Banno bagamba nti Uganda etubidde mu mabanja nebizibu ebitali bimu kyoka kyewunyisa okulaba ng’omukulembeeze asalawo okugaba obugabi obuwumbi omukaaga eri abanto ab’olubatu.
Enaku n’ebizibu nga byakusimbyeko akayumba, otuuka n’okwevuma okuzaalwa. Angella Kyotalimye ofiisa wa poliisi mulamba naye waali ekirwadde kye kibumba kimusuza atunula nga kundiri yakamalako emyezi essatu nga kimubala embirizi, naye agamba nti ne Poliisi temuyambye kwekuddukira mu bantu babulijjo.