Amasengejje

Catch our luganda news bulletin everyday at 7PM only on NBS tv.

Enkola eyokusala obuseke obuvaamu amazzi agazaala mu basajja eyogerwako ng’etalina buzibu bwonna eri omusajja, ateera nungi kukikwatagana n’okuzaala abaana ab’ekigero, leero tubuuza ku Kyoto abasajja kiki kyebogeera ku nsonga eno.
Abakyala abakakalabiza egyabwe mu butale bawereddwa amagezi okukakasa nti buli kyebakola bakisaako obuwandiike nga kino kijja kubayamba okumanya enyingiza n’enfulumya saako nokubagulirawo emikisa eri abagala okubayamba ku kikwatagana n’okubawola ensimbi.
Abazadde abamu okutwala abaana baabwe mu nasale bagamba nti kuba kwonona nsimbi, neberabira nti guno gwemusingi gwomwana mu bulamu bwe, mu nkuuza yabaana ennungi katulabe amakulu g’okusomesa omwana nasale.
Ababaka ba Palamenti abava e Buyikwe ababadde bagenze okuyamba abantu baabwe ku kikwatagana n’ekirwadde kya mukenenya ate kibabuseeko okutuuka mu bitundu byebakikirira nga babatendera nvunza ezinatera okumalawo bebakikirira. Abe buikwe balombozze enaku gyebasanze nga byonna biva ku nvunza wabula abamu ku batuuze banenyeza banabwe bebagamba nti bayitiriza obujjama nebatuuka nokubaletera...
Ssabasumba we sazza ekulu erya Kampala Dr Cyprian Kizito Lwanga avumiridde ebikolwa ebyokuyiwa omusaayi nagamba nti bityoboola ekitibwa kya Katonda. Sabasumba asinzidde mu kugulawo ennyumba ye sakaramentu nennyumba z’abakulu wano e Ntinda nagamba nti kyali kikyamu amagye okulumba olubiri namanyi gonna gebakozesa.
Mu kawefube w’okusindikiriza n’okumalirawo ddala ekimbe ky’amaaso ekyensenke ekyongedde okuzinga banayuganda olugujje , aba Habib medical school bakubye olusisira lw’ebyobulamu okuduukirira abalina obulwadde buno mu Buganda.
Ekimbe kya Cholera kyolekedde okuzingako abali e Koboko ng’entabwe eva kukyabutaba na kabuyonjo, olwo abasinga ebyayi nebabisala mu nsiko, ate abakyafu empitambi bamala gamansa nga bwebagala nga kino kitadde obulamu bwabasinga mu katyabaga. Ministule yebyobulamu olulabye nga guli guti nebakana ne kawefube w’okusomesa abeeno engeri yokuzimbamu kabuyonjo.
Abavubuka e Fortpotal bwobasanga batambula beyogeza boka nabokka, tobuuza lwaki bakola kino, enjaga gyebakomoota bangi ebasudde eddalu. Abakugu bagamba nti abavubuka abasinze okwononeeka bebali wakati w’emyaka 18 ne 20 nga nekisinga okwenyamiza nti n’ekimbe kya mukenenya kati kibasenkenya okufa obufi.
Banaddini e Kasese bawanjagidde abantu mu kitundu kino okukulembeza okusonyiwagana n’okusasirigana kwebyo ebyabaddewo e Kasese embeera lwegya okudda obulungi mu nteeko. Bwanamukulu we Kasese Rev Father Baluku Patrick agamba nti mukadde kano tewali kiyinza kuzza meeme z’abantu e Kasese okujjako okusoniyawagana n’okwerabira ebyabaddewo.
Kyaddaaki abantu abatibwa ng’amagye ne Poliisi galumbye olubiri lw’omusinga e Kasese n’obufo obugambibwa okuba nti abakuumi b’obusinga mwebali bekukumye bazikiddwa. Abantu bano bazikiddwa enkya yaleero mu nkambi y’amagye era agavaayo galaga nti abasoba mu makumi attaano bebazikiddwa.
Makerere University Academic Staff Association (MUASA) has distanced itself from local politicians soliciting funds to pay up their allowance arrears. MUASA’s position comes a day after members of FDC unsuccessfully attempted to execute a fundraiser for the opening of the university - an event that was thwarted by police....
Waliwo abazigu mukaaga nga bano babadde badumiirwa omujaasi w’egwanga Muyinda Dan eyadduka mu magye okuva e Kanungu bakwatiddwa poliisi e Iganga. Abazigu bano basangiddwa n’emundu bbiri ngemu ku zino muyinda gyeyadduka nayo saako amasasi agawerako. Bano okusinga babadde batigomya Kaliro, Iganga, Kakira, Busiya Mbale ne Jinja.
Empaka z’omupiira ez’abaana abato ez’ekibiina kya Kampala Junior football association zitongozeddwa olwaleero wali mu Ndeeba ku Papa paul memorial. Empaka zino zakujibwako akawuwo nga 28 omwezi guno wali e Kibiri.
Bo abasomesa ku ssetendekero e Makerere besamudde Dr Kiiza Besigye nebanne nga bagamba nti obuyambi bwabwe tebabwetaaga. Olwagyo enkalu zanonyeza obukongovule nga Poliisi ekwata ab’oludda oluvuganya abagenze ku kasozi e Makerere nga bakakatanye n’ebintu ebitali bimu,mbu bagenda kusonda zakugulawo Makerere, okukakana nga bangi bakwatiddwa. Kakati abasomesa bagamba nti bano bagye ebyobufuzi...
Wadde ng’abamu basigaddemu aka Thoma, ye Muhammad Shaban omuzanyi wa Onduparaka yasitukidde mu ngule y’omusambi eyasinze bane wano mu Uganda omwaka guno. Shaban yabadde atunka nabalala nga Denis Onyango.
Omubaka wa municipali ye Masaka Mathias Mpuuga alangidde omukulembeeze wa Uganda ne Gavumenti ye, nti sibajoozi baweweta mpisi kkundi, nti bakola kinene okwavuwaza banamasaka, kyoka okulinga okubaza engulu bali mukubawa bulimaawa nti bwebaba basimba. Mpuuga okutuuka okutabukira omukulembeze ne Gavumenti ye babadde ku mukolo ogwokugulawo akatale koomu nyendo.
Akulira oludda oluvuganya Gavumenti mu lukiiko lw’egwanga olukulu Winnie Kiiza akunze banakyewa abakazi nti bayambeko bana Kasese nga balambula amakomera agali mu bitundu byonna gyebava nekigendererwa ekyokuzuula wa gyebasibidde abakazi abakwatibwa okuva Kasese. Winnie Kiiza agamba nti abakazi bangi bakwatibwa okuva mu lubiri lw’omusinga nga nabamu balabwako nga bambuddwa engoye...
Sentebe wa Disitulikiti ye Mukono Andrew Ssenyongo nabakulira eddwaliro lya St Francis Nagalama bawanjagidde minisitule ye byobulamu eyongere ku mutemwa gwe nsimbi oguweebwa eddwaliro lino lisobole okujjanjaba abalwadde abangi abaligendamu. Bagamba nti mu kiseera kino nga gavumenti ekyalemereddwa okufunira disitulikiti ye mukono eddwaliro eddene ate ng’a balwadde bangi, lyetaaga okuyamba...
Oluvanyuma lw’obulumbaganyi obwakolebwa ku lubiri lw’omusinga okukakana nga bangi batiddwa, abenganda zaabo abafiriddwako abaabwe bali mu kutakula mitwe nga bebuuza kiki kyebagenda kuzaako, anti abasinga kwabo abatiddwa bebabadde bayimirizaawo amaka gaabwe. Jordan Mubangizi omusasi waffe akyali Kasese atuuseeko mu maka gomu kubafiriddwako abadde abalabirira nawayamu nabo, wabula ennaku gyebamulojedde eyoza...
Olunaku lw’enkya bannantamegwa ba liigi y’eggwanga aba KCCA baakwambalagana ne Proline mu mupiira gwabwe ogusembayo mu kitundu ekisooka ekya liigi ye ggwanga eya Azam Uganda Premier league. Wabula aba KCCA FC bagamba nti guno bagwetegekedde ekimala era emikisa gya Proline okubawona mitono.