Amasengejje

Catch our luganda news bulletin everyday at 7PM only on NBS tv.

Empaka z’ebikonde eza ba musaayimuto abayaayaana okufuuka ba nnankinku ziggyiddwaako akawuuwo mu kisaawe e Lugogo. Club eziwerera ddala 38 z’ezeetabye mu mpaka zino, ng’ezimu zivudde Mbale n’e Jinja.
Abasudani abakuumirwa mu nkambi e Kiryandongo, enjawukana zabwe mu mawanga bazireese ne mu Uganda ng’agava mu nkambvi y’e Kiryandongo gagamba nti tebakyalabagana. Bannakyewa aba YWCA bwe bawulidde amawulire ago basitukiddemu okugatta abantu bano, babategekeddewo olukungaana muzzanganda ne beetaba mu mizannyo egy’enjawulo n’okubatandikirawo obulimulimu.
Okukyala kw’omutukuvu Ppaapa Francis gwali mukisa gwa njawulo nnyo eri Uganda. Namugongo yayoyootebwa era ekifaaananyi kyonna ne kikyusibwa, ku kiggwa ky’abajulizi abakatoliki mpozzi ne ku ky’abakulisitaayo. Omwaka guweze omulamba kasooka ppaapa ajja mu Uganda, wano ku NBS TV twongera okukutusaako ebyaliwo oluvannyuma lw’omwaka.
Enteekateeka ey’okugatta ba dereeva ba taxi n’abagoba ba bodaboda wano mu Kampala n’ebitundu ebirala eggyiddwaako engalo. Bannamukago ogutaba ba dereeva ogwa Amalgamated Transporters and General Workers Union be bawomye omutwe mu nteekateeka eno, era mu kyo baakubalambika ku ngeri y’okunyweza omulimu gwabwe.
President Yoweri Museveni akatemye bannayuganda nti tebasaanye kwesunga mafuta, wabula banyweze kidima kubanga n’ensi ezaakulakulana nga Japan tezaakulira ku mafuta. Museveni abadde ku Serena hotel mu Kampala mu lukungaana olutudde okuteesa ku mafuta ga Uganda olwetabyemu abakugu aba’enjawulo mu kisaawe ky’amafuta. Agambye nti amafuta gano agasuubirwa okutandika okusimwa mu 2020, gajja...
Omusuubuzi w’omu Kampala Mathew Kanyamunyu ne banne basuze ku alimanada e Luzira, oluvannyuma lw’okuggulwako omusango gw’okutta omugenzi Kenneth Akena wiiki eyayita. Kanyamunyu ne muganzi we Cynthia Munwangali gattako muganda we Joseph Kanyamunyu olwaleero batwaliddwa mu kkooti e Nakawa era omulamuzi tabaganyizza kwewozaako n’abasindika ku mere e Luzira.
Akakiiko akassibwawo president Museveni okunonyereza ku gogolimbo ali e Makerere mu butongole katandise omulimu gwako, era kasuubizza okutema empenda ezinaamalawo ebizubu bya ssettendekero ono. Akulira akakiiko ako DR Abel Rwendeire agambye nti omulimu bagutandise n’amaanyi, era yeeyogeddeko nti asaanidde okukulira omulimu ogwo kuba yali akoleddeko e Makerere.
Ebbugumu lyeyongedde mu tiimu y’;eggwanga ey’omupiira Uganda Cranes oluvannyuma lw’omutendesi Micho Sredojevic okuyita abasambi beeetegekere empaka z’ekikopo kya Africa. Tiimu efunye ab’omukago abalala aba Ecobank, beewaddeyo okubayambako mu nteekateeka zonna.
Munnaakibiina kya FDC Dr Kizza Besigye avuddemu omwasi ku nsonga za Makerere University, awadde president Museveni ennaku 10 ng’aggudde ssettendekero oyo, bw’ataakikole waakukunga bannayuganda beekalakaase. Ebizibu bya Makerere tebinnaggwa, era eggwaga lyonna liri mu kizikiza nga mpaawo amanyi ddi lw’enaggulwa abayizi baddemu okukwazza emisomo. President yalagira bagiggale oluvannyuma lw’abayizi okwekalakaasa n’abasomesa...
Omujulizi ow’ekkumi mu musango oguvunaanwa abasiraamu Robina Kirinnya ategeezezza nti ebisonkole by’amasasi byeyekebejja biraga nti byava mu mmundu yeemu ey’ekika kya AK 47 eyakozesebwa e Kajansi, Kiwatule ne Bweyogerere okutta abasiraamu . Robina obujulizi buno abuleese mu kooti kyoka abawolereza babawawabirwa bamukubyemu ebituli ngabagambanti amasasi bamutwalira butwali so siye yagafuna...
Gavumenti mu butongole ewadde ebitongole 2 ebivunanyizibwa ku kubunyisa amasannyalaze obuyinza obujjuvu obw’okulabirira dam z’amasanyalaze 2 ezizimbibwa okulaba nti omulimu guggwa. Minisitry y’amasannyalaze y’ebadde n’obuyinza ku dam ey’e Isimba n’eye Bujagali, wabula leero minister Irene Muloni obuyinza abuwaddeyo, n’abakuutira okulondoola omulimu ogwo okulaba nga guggwa.
Munyonyo: Omanyi Paapa Bweyamuleka?
Nnantameggwa w’omuzanyo gwa golf mu bakyala Flavia Namakula tasuubirwa kubaawo omwaka ogujja 2017 okweddiza engule ye gye yaaakawangula emirundi 5. Namakula ategeezezza NBS nti wiiki eno nga tennagwaako agenda kuzannyira nsimbi ebunaayira.
Abatunulizi be byenfuna balabudde bannayuganda abakaaba beeyi yebintu enaku zinno nti eri waggulu nti bakaabe mpola kubanga kino kikyali kituuza. Bannabyanfuna balabudde nti ebeeyi y’ebintu ebisinga obungi naddala ebikozesebwa mu maka ekyalinnya.
Amamala okuva mu kkooti gavumenti olwaleero eyanjudde omujulizi no. 9 mu musango oguvunaanibwa ba sseeka, be bateebereza okuba n’ekkobaane mu kutemulwa kw’abakulembeze b’obusiraamu. Omujulizi ono ye musawo Madrama Charles, wabula aswalidde mu kkooti, bw’akakasizza nti yeekebeggya abasibe 2 n’akakasa nga balaamu bulungi, kyokka bwe bamulagidde okubalondoba mu basibe abalala n’alemererwa.
Eggye ly’eggwanga UPDF lisaanyizzaawo emmundu ezisoba mu 6000 ezibadde mu mikono emikyamu. Emmundu ezo zizze zikungaanyizibwa okuva mu bikwekweto ebibadde bikolebwa okumala emyaka 4, mu bitundu by’eggwanga eby’njawulo. Baziteekedde omuliro zonna ne ziteta, ng’ezisinga obungi baaziggya Karamoja, Kasese, Arua, Kampala n’awalala.
Sipiika wa paalimenti omukyala Rebecca Kadaga anenyezza nnyo omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni okuggala Makerere university nga tasoose kwebuuza ku bakulu abakwatibwako, n’ekivuddemu by’ebizibu ebikosezza abangi. Kadaga awatali kuluma mu bigambo agambye nti president yaakola ensobi nnene, kubanga okuggalwa kwa Makerere kwe kuleetedde abalwadde okubonaaabonera mu malwaliro naddala wano mu Kampala.
Ababaka ba paalimenti bafungizza mu lutalo olw’okulwanyisa ebbula ly’emirimu naddala mu bavubuka ab’omulembe guno. Ababaka abano nga bali bumu ne bannaabwe abakiikirira abavubuka mu paalimenti, baagala bawebwe akadde babage etteeka erinaajuna omuvubuka wa leero. Mu kyo baagala gavumenti eteekerewo abavubuka omwaganya, ng’olumaliriza emisomo ku university, kibakakatako okuweereza gavumenti, bafune obumanyirivu mu...
Omulimu gw’okuzimba oluguudo Makerere Hill Road oluva e Wandegeya ne lugguka e Nakulabye kyaddaaki guzzeemu okukwajja, oluvannyuma lwa KCCA okutuuka ku ntegeeragana ne Makerere University. Omulimu ogwo gwali gwayimirizibwa oluvannyuma lwa Makerere University okussaawo emisoso, gamba ng’okubayamabko okukola enguudo zabwe n’ebirala ebiringa ebyo.