Amasengejje

Catch our luganda news bulletin everyday at 7PM only on NBS tv.

Abalimi b’e Kayunga ababadde batwala ebirime mu South Sudan gebakaaba gebakomba olw’olutalo okwekiika mu nteekateeka zaabwe. District y’e Kayunga yeebadde esinga okuvaamu ennanansi n’ennyaanya ebibadde bitundibwa e Juba.
Minisitule y’ebyenjigiriza n’emizannyo etandise kaweefube w’okussa munkola ensengeka y’ebisomesebwa empya giyite Cirriculum nga omwaka ogujja lwenetandika. Era mu buufu bwebumu, abayizi basabye ekitongole kya Uganda Virus Institute okukomya okugezesa eddagala elyakafulumizibwa mu makolero ku bantu ba ssalumanya.
Poliisi efulumizza amateeka amakakali 14 eri abagoba ba boda boda ng’engeri emu ey’okulwanyisa envuga embi eviirako n’obubenje. Erimu ku mateeka gano kwekuli etteeka elikwata owa boda yenna ayita ku bitaala nga tegannamuta era aba ajja kusibira kampiringisa.
Poliisi eweze nga bwegenda okusindiikiriza eky’okukola enongosereza mu tteeka elikugira okukukusa abantu abatwalibwa mu mawanga ag’ebweru, musobole okussibwamu akawayiro akalwanilira eddembe ly’abannayuganda abakolera ebweru. Kino kizzewo oluvannyuma lw’omuwendo gw’abantu abakukusibwa okutwalibwa mu mawanga ag’ebweru okweyongera sso nga bangi bakolera mu mbeera mbi nnyo eyo emitala w’amayanja.
Omulamuzi wa kkooti ento e Nakawa James Eremye Mawanda alambudde obuduukulu bwa poliisi ezenjawulo ng’eno gyasisinkanye abaserikale nebamuttottolera ennaku n’ebizibu ebyenjawulo ebiviirako n’abasibe okubatolokokako. Omulamuzi Eremye Mawanda okulambula obuduukulu, agendereddwamu okumanya abasibe embeera mwebawangaalira kko n’abaserikale mwebakolera emirimu gyabwe basobole okuteekerwateekerwa obulungi.
Ababaka ba paalamenti bawukanye ku ky’abagagga abamu okuddukira mu gavumenti okubasasulira ku mabanja agabatuuse mu bulago. Kino kidiridde abagagga abasoba mu 66 okwekubira enduulu eri gavumenti nga bagala ebayambe ebatikkule omugugu gw’amabanja aganaatera okulemesa emirimu gyabwe okutambula.
Emirambo gy’abayizi abaagudde mu nnyanja ku mwalo gw’e Nabugabo- Masaka giweereddwa abazadde ne banenya amasomero mwebabadde basomera olw’okubatwala okuwuguga nga tebabebuuzizaako n’okubakkiriza okunywa omwenge. Abayizi bano nga bombi balenzi babbidde lunaku lwa ggulo ku kabaga akaategekeddwa abasomesa baabwe nga beetegekera ebigezo.
Kkooti e Makindye eyise ssabaduumizi wa poliisi Gen Kale Kayihura n’abaserikale ba poliisi abalala musanvu bennyonnyoleko ku misango egyabagguddwako egy’okukuba abawagizi ba Dr Kizza Besigye nga abakuba eky’okuttale. Kino kiddiridde abamu ku bantu abaakubwa emiggo gyebuvuddeko Besigye bweyali ayimbuddwa okuva mu kkomera n’ebweyali agenda e Najjanankumbi okukuba olukungaana lwa bannamawulire...
Dr Kizza Besigye eyesimbawo ku bendera ya FDC mu kulonda kwa Pulezidenti okwakaggwa, azzemu okukwatibwa olwaleero nga olunaku alumaze mu kaduukulu ku Poliisi ya Jinja road. Besigye okukwatibwa abadde kyajje amale okuwangula gavumenti, kkooti bwegobye omusango ogubadde gumuvunaanibwa ogw’okujeemera ebiragiro bya poliisi nga guno kigambibwa yaguzza mwaka guwedde nga ali...
Kkooti enkulu esazizzamu omubaka omukyala owa district ye Serere Hellen Adoa ng’egamba nti mu kubba obululu ono yali tamanyiiyo munne sso nga mukugaba omusimbi okugulilira abalonzi yali amansa bumansa nga teyeeguya. Omusango guno gwawaabwa Alice Alaso eyali omubaka omukyala owa district eno oluvannyuma lw’obutamatira na byava mu kulonda era nga...
Ng’emyaka gigenda okuwera 23 bukya sabasajja Kabaka atuula ku Namulondo, okulamula obuganda, tukututte ku kasozi Nagalabi, omulangira gyayingira ng’omulangira navaayo nga Kabaka. Tukuletedde ebyafaayo bya kasozi Nnagalabi.
Banayuganda banji bawudisiddwa nebatwalibwa mu nsi z’ebweru ngabalimbiddwalimbiddwa nga bwebagenda okuyoola ensimbi, kyoka bwebatuuka eyo, nebabasa mu bintu birala, abamu nebamaliriza ngabafiriddwa obulamu. Bino byebiwaliriza banakyewa okuva mu kitongole kya RAHAB Uganda okusiyaguka kilomita 32 okuva e Lubowa paka entebe okulaga akabi akali mubikolwa ebyokukusa abantu.
Omuduumizi wa poliisi ya Uganda Gen Kale Kayihura agugumbudde bannamawulire baagamba nti bamufukidde embalabe mu nnyindo,kuba baamulwanyisa okumulemesa emirimu gye. Kayihura agamba nti emikutu gy’amawulie egitali gimu gisiiba gimusojja olw’obusongasonga obutaliimu ggumba sso nga ne bwakola ebirungi tebabiraba ekyoleka nti bamulinako akakuku.
Abakulu b’amasiga mwenda agakola ekika ky’engeye sibamativu olw’ebintu nga bwebiri mu kika kyabwe. Bano batudde nebawanjagira sabasajja okubasisinkana babeeko byebamubulira ku mbeera nga bweri, gyebakakasa nti eyolekedde okuyuzayuza ekika kyabwe.
Abali mulimu gw’okukola sukaali bagamba nti bagala tteeka erijja okulambika omulimu guno, ob’olyawo kinayambako okufulumya sukaali ku bbeeyi ensamusamu. Bano bagamba okukola sukaali mu Uganda kyabuseere, ng’abasinga bagamba nti kyekivuddeko nabantu okusalawo okusubuula sukaali ebweru wa Uganda, nebalekawo akolebwa mu Uganda.
Abatuuzze b’e Ggangu A-Makindye baguddemu ekyekango bwebasanze munnaabwe nga yeetugidde mu kasitoowa k’enju mwabadde yaakamala emyezi esatu gyokka. Omugenzi abadde abeera ne bba gwabadde ateekateeka kwanjula mu bakadde be mu mwezi gwa Musenene.
Bw’oyogera ku district eye Kalungu, omuntu kyasooka okulowooza ye district etawanyizibwa ebbula ly’amazzi wabula bino bituuse okusigala mu nfumo oluvannyuma lw’ennyanja okwetonda mu district eno. Abatuuze ku mwalo omupya ogwa Katonga mu Ggombolola y’e Lwabenge basanyufu ebitagambika era abalala gyabakaabira akasana bbo bakakkalabya mirimu
Akatalekekka okajjukira? Kali kakunyumira? Tosagasagana anti NBS ekakomezaao ng’ate ku mulundi guno kanyuvu, tuula okanyumirwe.
Empaka za Kigezi region eza Kyenga ziwanguddwa St Mary’s Kitende. Empaka ziko ziyindidde Kabale.