Amasengejje

Catch our luganda news bulletin everyday at 7PM only on NBS tv.

Ssaabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II leero yegatiddwako abagenyi be okuva e bule nebweya okujaguza amatikkira ge agomulundi 25. Kabaka mu kwogerakwe yeekokkodde obulyake mu bitongole ebyenjawulo nga buno bwebulemesezza enkulaakulana ya Uganda
Newankubade tiimu ya sports club villa ekyalina enkayana mu ngeri gyefugibwamu, ye omutendesi wa tiimu eno Moses Basena yatandise dda emirimu gy'okutendeka era olwalero abade n'okutendekebwa kwe okwokubiri Ku Islamic university e Kabojja. Wabula woowulirira bino nga Misagga nenkambibye bakyemulugunya Ku ngeri gyeyayisibwamu nga akyali pulezidenti wa tiimu eno
Abatuze be Mushumba mu disitulikiti y’e Rubirizi balaajana baagala gavumenti ebayambe ebafunire amazzi amayonjo mubanga agaliwo baganywa na nte. Abatuze bagamba nti bamaze ebbanga eriwera nga banywa amazzi amakyafu agava mu nnyanja nga gatandise okubalwaza endwadde eziwera.
Abatuuze b’e Ssumbwe -Bulenga mu District y’e Wakiso bamaze essaawa kumpi ssatu nga batubidde n’omulambo gw’obuvubuka Jamil Sekitoleko ow’emyaka 23 oluvannyuma lwa polisi y’e Buloba okulererwa okuguddukira, yadde nga sentebe w’ekyalko yagyikubidde essimu wabula n’ekamutema nti erina mafuta. Omugenzi Jamil Sekitoleko asangiddwa ng’afiiride mu nnyumba wabula ng’eccupa z’omwenge zimwetolodde.
Ekitongole ekivunanyizibwa ku mutindo ekya UNBs kigumizza bannayufanda nga bwekikendeezezza ku bungi bwebintu ebitatuukana na mulembe ebiri ku katale ka Uganda nga wadde omuwendo guno gukyali wagggulu naye essubi ddene nti bikendedde nnyo. Abakola ku mutindo bagamba ebijingirire bino bisse okuva kwebyo 70 nebidda ku 54 ku buli kikumi...
Ekitongole ky’ enenkanakana ne ekyabalema mu gwangga bwogedde ku ngabanya yobuyambi mu mbalira ye gwanga 2017 ku hotel Africana olunaku olwaleero. Ebitongole bino bilazze engeri ze’ ngyawulo abalema gye balekeddwa emabeka mu ntekateka ez’ eggwanga.
Abalimi mu kibuga Nagongera mu disitulikiti y’e Tororo wowulirira bino nga gebakaaba gebakomba oluvannyuma lwenkuba okusaanyaawo emisiri gyabwe egyomuceere nga kati beerallikiridde nti bbanka zaakubatwalako ebyabwe. Abalimi bagamba nti enkuba eyatonnye yabalese mu mabanja kubanga okusimba omuceere abantu bano baateekamu ssente ezisoba mu bukadde 70
Minsiitule yebyensimnbi eyanjulidde paalimenti ennongoosereza mu musolo gwokutambuza ssente oba Mobile Money okuva ku magoba abassente emu ku buli kikumi okudda ku ssente 0.5. Ssinga gunaaba guyiseemu omusolo guno gusuubirw okuvaamu obuwumbi 118 naye nga nekisinga omusolo gwakusalwa kwoyo aggyayo ssente yekka
Eby’omuvubuka avunaanibwa ogw’okukozesa obubi ebyuma bikalimagezi bibi,okujulirakwe kwongezedwayo okutuuka nga 3 omwezi ogya,oba ddala akirizibwa okuwoza nga ava ebweru. Isiko Brian agambibwa okuwereza omubaka omukyala omubaka obwo’mukwano ,nokumulaga obutambi bwaberigomba nga bwamukwana. Ebitongole ebilwanirira eddembe lya basajja,ababaka,abenganda nabemikwano bakakasa nti talina musango era bakukola ekisoboka ,okulaba nga Isiko ateebwa...
Omwogezi wa gavumenti Ofwono Opondo atangaazizza ku bbaluwa ya pulezidenti Museveni gyeyawandiise olunaku lweggulo nga yeemulugunya ku nsala y’omusango gwe mbale nga mweno emyaka omusanvu ababaka gyebaali baagala okweyongeza gyagaaniddwa. Mu bbaluwa ya pulezidenti museveni gyeyawandiise olunaku lweggulo, omukulu yagugumbudde nnyo abalamuzi beyategeezezza nti mu nsal YAABWE BEERABIRA Ensonga...
Nga emu nku ngeri zokwetegekera sizoni ya 2018/19, tiimu munaana ezasinga okusamba omupiira mu liigi za Uganda ebbiri ezisooka zakwetaba mu mpaka ezitumidwa super 8. Empaka zino zaakutandika nga enaku z’omwezi 4 omwezi ogujja.
Okusinziira ku bakugu ekisinze okutta abavubuka bw’ebutatwala kutendekebwa nga kikulu ekimanyiddwa ennyo nga internship. Bano bwebatuuka gyesindikiddwa badda ku kutaayaaya .
Kkooti y’oku Buganda Road ,eremeredwa okuwa ensala yaayo ku bantu omwenda abateeberezebwa okuba nakakwate ku kutibwa kw’omuwala Susan Magala. Kino kidiridde abantu bano okusaba ,okugenda okujanjabibwa obuvune bwebafuuna ,oluvanyuma lwokutulugunyizibwa nga bakwatibwa,nga bayita mukibiina ekya African Centre for Torture victims. Omulamuzi Robert Mukanza,omusango nagw’ongerayo okutuuka nga 15th/August /2018.
Polisi Y’E Bulenga eriko ababbi babiri beekutte nga bateeberezebw aokuba nga bazze batigomya Bulenga nebitundu ebyetooloddewo Poliisi bano ebakukunudde mu nnyumba yaabwe e Bbira nga ebasanze bawummuddeko Poliisi egamba yatemezeddwako abatuuze nti waliwo abantu abatategerekeka abasula mu kitundu nga bano baateberezebw aokuba emabega wobubbi mu kitundu
Banna dp e Bukomansimbi babakanye nokuzza ekibiina kya DP engulu ku luno nga basazeewo okukulembeza omubaka w’e Kyaddondo Bobi wine mu kaweefube waabwe ono Bannakibiina olunaku balumaze n’omubaka kyagulanyi nga batalaaga bukomansimbi mu ngeri ya nju ku nju nga bwebabuulira eggwanga ebigenda mu maaso
Nga Buganda ejaguza okuweza emyaka 25 egyobwakabaka, ssaabasajja Kabaka wa Buganda RMMII asisinkanye omugenyi we owenjawulo ono nga ye Asantehene Omutufuo Nana Osei Tutu II owabasante Omugenyi kabaka amusisinkanidde ku bulange wamu n’abakungu be.
Omukulembezze we ggwanga Yoweri Kaguta Museveni akubye ebituli mu nsala yabalamuzi mu musango gw’okugya ekkomo ku myaaka gy’omukulembezze we ggwanga ogwasalibwa gyebvuddeko Museveni ngasisnziira mu nsi South Africa gyali abaze ekiwandiiko nga kyogera ku nsonga nnyingi omuli nokutegeeza nti ye yali awagira ekyemyaka omusanvu abalamuzi kyebaggyewo ye kyayise ekyobutalaba...
Poliisi erambise engeri eby’okwerinda gyebigenda okunywezebwamu enkya mu ku matikkira ga Saabasajja Ronald Muwenda Mutebi II aga 25 mu lubiri e Mengo. Mu kino poliisi egamba etedde abaserikale baayo buli wamu era ababbi nabakozi beffujjo tebeetenatala kulinnya Mmengo kubanga baakukwatibwa
Gyebuva negyebugala Uganda eze ebeera nabakwasi ba goolo abalungi bangi nga kumpi bulimwaka wabaawo omwana omupya azuulibwa. Ensangi zino, Bashir Sekagya yemwana aliko nga sizoni eyagwa yeewuniinkiriza abagoberezi ba liigi yababinwera n’omutindo gwe ku tiimu ya UPDF. Olwalero omusasi waffe Grace Mbabazi atuleetede emboozi ya musaayi muto ono afuse...
Bwofumitiriza ennyo ogyakusanga nga gwe oba omu kub’eŋŋanda zo mwali mukoleddwako ekikolwa eky’obukambwe. Naye abaffe kiki ekiviraako omuntu ategeera obulungi okutandiika okukola ebireka abalala nga bawunikiridde, Kiva ku bwongo oba embeera yefuukidde abantu ekizibu?