Enguudo Z'e Kawempe

0
1125

Ekitongole ekikulembera kampala ekya KCCA kyekyokka ekirina olukusa okuzimba enguudo mu kampala nga amagombolola ataano agakola kampala tegalina buvunaanyizibwa nga bwekiri mu bitundu byegwanga ebitali mukampla. Kino kireeseewo okusoomoza eri abakulembeze aba magombolola abalabika nga nabo balina kusaba kitongole kya KCCA okukolera abantu. Ali Nganda Mulyanyama mayor we makindye leero akedde okulambula enguudo ezikolwa mu makindye akiguddeko abantu bwebamulaze oluguudo olufuuze akattiro buli nkuba wetonnya ate noluguudo lwa bridge olwaggalwa e katwe nga kati abantu balina kuyita wansi ekireese obubenje obutaggwa.