Gavumenti Eyanukudde Buganda ku Ttaka

0
1073

Gavumenti eyawakati eyanukudde Buganda ku ky’okuwakanya enteekateeka zaayo ez’okwongera okukola ennongoosereza mu tteeka ly’ettaka, okuwa gavumenti obuyinza okweddiza ettaka ly’obwannanyini okukolerako eby’enkulaakulana ebigasiza awamu abantu.
Kinajjukirwa nti ku ntandikwa ya sabiiti eno, Katikkiro wa Buganda munnamateeka Charles Peter Mayiga yasinziira mu lukiiko lwa bannamawulire n’ategeeza nga Buganda bwetagenda kukkiririza kiteeso kino, newankubadde kitwaliddwa mu paalimenti.