Kanyamunyu ne Banne Baakutandika Okuwoza
Omuwaabi wa Gavt amalirizza okunoonyereza ku musango gw’okutemula Kenneth Akena oguvunaanibwa ab’okuganda ababiri Mathew ne Joseph Kanyamunyu ssaako Cynthia Munyangwari.
Olwaleero omulamuzi wa kkooti ento etuula e Nakawa akkirizza abasatu bano okugenda okuwozesebwa kkooti enkulu kuba emisango egibavunaanibwa gya naggomola.