KCCA Esuubizza Okugogola Kampala

0
1042

Ekitongole ekiddukanya ekibuga Kampala ekya KCCA kigumizza bannakibuga nti, kikola ekisoboka kyonna okulaba nga enguudo n’emyala mu Kampala wano zikolebwako amangu ddala, olwo bannakampala beeyagalire mu kibuga kyabwe.
Abakungu okuva mu KCCA bagamba nti ebizibu bannakampala byebayitamu ebisinga batandise okubinogera eddagala nga essira liteereddwa nnyo ku nguudo n’emyala, kubanga ye kanaaluzaala wa buli kizibu mu Kibuga kino.

TagsKCCA

More News