Kibuule ne Gwe Yapacca Bakkaanyizza

0
1168

Minisita omubeezi ow’ebyamazzi Ronald Kibuule kyaddaaki atuuse ku ntegeeragana n’omusirikale Hellen Obuku gwe yapacca empi gyebuvuddeko.
Ab’oluganda lwa bano bombi bakkaanyizza omusango ogubadde ku poliisi e Mukono ne baguggyayo, ku lw’obulungi bwabwe bombi.
KIgambibwa nti KIbuule yakuba omusirikale ono omukazi omukuumi wa bbanka, oluvannyuma lw’okumusaba amwaze nga tannayingira, ekintu ekyawawaaza ensi.
Batuuzizza bannamawulire ne bakakasa ensi nti basonyiwaganye.