Eyali Aduumira Poliisi y’e Buyende Muhammad Kirumira atwaliddwa okuva mu kkooti nga talinnya oluvannyuma lwokusiiwuuka empisa nalwanira mu kkooti ya poliisi emuwozesa ku misango egiwera omuli ogwokusaba enguzi n’okukozesa amaaanyi mu kukola emirimu gye. Kirumira leero abadde akommyewo kkooti esalewo oba yeyimirirwa oba nedda nga newankubadde kkooti emukkirizza yeeyimirirwe naye obumu ku bukwakkulizo tabutuukirizza nekizzeemu kwekutandika okuwanvuya amaloboozi Afande ono eyeeyita mwoyo gwa ggwanga bweyeekandazze nga awakanya enkola za kkooti eno.