Lwaki Minisita Kibuule Poliisi Temuyise?

0
918

Akakiiko ka palamenti akavunanyizibwa ku kwasiza empisa mubabaka ba palamenti leero lwekatandiise okwekenneenya enneeyisa y’ababaka neebyakolebwa byonna mu paalimenti, mu kacankalano akaaliyo omwezi oguwedde. Wabula olukiiko olusoose teruwedde nga ababaka bakubagana empawa lwaki minisita omubeezi ow’ebyamazzi Ronald Kibuule tali ku lukalala lwaabo abagenda okukangavulwa wadde nga sipika Rebecca kadaga yalagira minisita ono okugenda mu kakiiko kano, olw’okukaalakala n’emundu n’agiyingiza ekisenge ekiteesezebwamu.