Minisita Awagidde Abazannyi

0
1201

Mu kawefube w’okutumbula ebitone mu bavubuka okubasoboozesa okweyimirizawo mu ggwanga, Minisita webyengigiriza mumatendekero agawagulu Dr. JC Muyingo asindikidde abavubuka b’ebamunaanika obukadde 51 obwa Uganda okusobola okutumbula emizannyo mu kitundu kyabwe.
Ensimbi zino zaakugula ebintu nga emipiira 247,nemijoozi nga buli kyalo kyakufuna.
Ettu lyabwe libakwasiddwa ssentebe wa district y;e Luweero Ronald Ndaula ku keleeziya ya Busambu esangibwa mu Constintuency ye Bamunanika.
Ekigendererwa kya kulaba nga bano bafuna tiimu y’omupiira enazannya mu liigi y’eggwanga eyababinwera mubisera by’omumaaso.
Minista muyingo abateeredewo nempaka z’ompiira ezekikopo ekibuludwa mu manya ge nga zaakwetabwamu amatiimu okuva ku byaalo okutuka ku daala lye ssaza nga muno mwemunaalondebwa tiimu enaakiikirira ekitundu kino mu liigi yaababinwera.