Mugule Ebikolebwa Wano – Amelia

0
1011

Gavumenti ya Uganda erumye n’ogwengulu okulaba nga bannansi bongera okwettanira abyamaguzi abikolebwa kuno, nga kino egamba nti kyakuyamba nnyo okukendeeze ku ssente ezifuluma eggwanga ko n’okugaziya akatale eri bannamakolero baano.
Minisita w’ebyobusuubuzi, amakolero n’obwegassi Amelia Kyambadde olwaleero awayizzaamu n’omusasi waffe ku nsonga eno, n’agamba nti ekiruubirirwa kya gavumenti gyaweererezaamu kyakulaba nga buli bintu e 100 ebikolebwa kuno, 23 bigulibwa bannansi.