Museveni Lweyawamba Kampala Kasirye N'atamiira

0
1255

Olutalo lw’e Luwero olwaleeta NRA lyayindira emyaka etaano murambirira naye emmundu ewamba ekibuga kampala ejjukirwa nnyo okutandika nga 24 Jan 1986, awo Museveni ne banne baakuba emmundu era kwolwo baasula lubaga. Enkeera nga 25 emmundu yaseka lunaku lwonna nga ekibuga bakifubutuka kumpi mu buli kasonda kaakyo era nga 26 bakkakkana bagguse ku Ladiyo Uganda, olwo nebawamba.
Nkulaba ofumintiriza ekifaananyi kya Kampala ow’ekiseera ekyo naye leka nkutaase okulowooza ennyo, Kampala bwati bweyali afaanana.