Musisi Ayuuguumizza Kampala, Abantu Bamulojja

0
1064

Ekyekango tekimanya muzira anti nembwa ojikuba ennyama nedduka, kakati bwegubadde ne mu kibuga Kampala, nga nabamu b’sosubiira nti bagumu n’okusinga ku lwazi, bebasoose banabwe okudduka nga byona biva ku musisi ayugumiza Kampala eggulo lyaleero.
Mwanawatu newano ku Media Plaza abakozi nabo ekizimbe bakifulumye nga nabamu emisinde gyebadduse ng’osigala webuuza ddala lwaki Uganda teyasobola kuwangula muddaali gwona mugya Olympics, twogeddeeko nabamu.