Nga Uganda yegatta ku nsi yonna okukuza olunaku lw’enkozesa y’akapiira ka kalimpitawa, bannassaayansi babotodde ekyaama nti abasajja basuse okuwaayiriza gavumenti nti obupiira obuli ku katale tebubatuuka kyokka nga babugula tebeetegerezza bipimo byabwo. Mu mboozi ey’akafubo ne NBS TV, Wilberforce Kwiringira okuva ku kkennenyerezo ly’obupiira eriddukanyizibwa ekitongole ki National Drug Authority, agamba kino kikoseza nyo enkozesa y’obupiira era Uganda yeesanze nga nabafubye okubukuzose tebubayamba.