Omubaka Mukasa Mbidde Asubiddwa Emikolo, Poliisi Emukwatidde E Tooro

0
1190

Omumyuka wa Senkagale w’ekibiina kya Dp Fred Mukasa Mbidde eggulo lyaleero lyonna alimaze mu kaddukulu ka Poliisi e Fort portal oluvanyuma lwokukwatibwa Poliisi ng’akubye kyebayise olukungaana olumenya amateeka awakanya ekyokukyusa semateeka. Mbidde abadde wamu nakalonga nga Sabawandiisi wa Dp Gerald Siranda nga banekanekanye mu kanzu era e Toro babadde bagenze ku mikolo gyokujukira amatikira gomukama agomulundi ogwa 22,naye gigenze kuggwa nga bo baali mabega wa mitayimbwa.