Omumyuka wa Okoth, Sabiiti Muzeyi Ababaka Bamulabudde

0
1246

Ababaka ba palaamenti abawakanya ebbago lye tteka elyokujja ekkomo ku myaka gya pulezidenti beerayiridde okusimbira ekkuuli amyuka Ssaabadumizi wa Polisi omujja Brigadier Sabiiti Muzee nga bagamba nti yeyakulemberamu abajaasi ba SFC okulumba paalamenti kwosa ne babakuba omwaka oguwedde. Wabula ababaka bano beebamu ate baanirizza ekyomukulembeze w’eggwanga okuwummuza ba Generaali ababadde balwana ne bagamba nti ataasizza ekifanyi ky’ebitongole ebikuumaddembe.