Omusibe Afiiridde ku Poliisi e Mukono, Akulira Poliisi Akwatiddwa

0
1040

Omusibe asangiddwa mu kaddukulu ng’alengejera ku mulabba akwasisa ekulira Poliisi ye Namanve mu kibangirizi ky’amakolero. Salongo Muhammad Maviri yakwatiddwa oluvanyuma lwokufuna obutakanya ne Mukazi we naye enkya yaleero basanze omusipi gumuli mu bulago nga yetuze. Kakati aboluganda lwe batabusu nga bagamba nti mu kaddukulu ka Poliisi teri musibe ayingirayo namusipi, Poliisi erina okunyonyola.