Poliisi Erabudde Ku Fujjo Mu Kalulu E Kyaddondo East

0
1066

Akalulu ka kyaddondo east kengedde era bwewatabaawo kikyuka, okunoonya akalulu mu lujjudde kuggwa nkya, olwo olunaku olw’okusatu bawummulemu ate ku lw’okuna bannakyaddonddwa basalewo.
Okunoonya akalulu kubadde kwa bbugumu nnyo nga yeesimbyewo amatiza abalonzi nookubawa ensonga lwaki gwebasaanye okuyiira obululu, twagala abantu ssekinoomu batubuulire ensonga emuwagiza gwawagira.