Poliisi Ya Africa Yaakutuulakuno

0
981

Omuduumizi wa poliisi mu gwanga Gen Kale Kayihura yesomye okulwanyisa obumenyi bw’amateeka obukyaase mu mawanga g’obuva njuba, omuli obutujju, okukusa abantu n’ebiragalalagala, okubbira ku byuma bikali magezi no’bubbi bwa motoka.
Mu kiseera kino Kaihura yakulira ekibiina ki Eastern Africa Police chiefs Cooperation Organization.
Olwaleero abadde Mukono ku ssetendekero wa Uganda Christian University ng’alambulula enteketeka z’olukungaana lw’abakulu ba police mu mawanga g’obuva njuba olugenda okutuula wano omweezi ogujja.