Abapoliisi b’e Wandegeya mu Kampala bafunye okusoomoozebwa enkya ya leero abavubuka abakedde okwekalakaasa bwebataamye nebakuba abapoliisi enguumi n’amapeesa negasumulukuka abapolisi abamu nebatandika okuweekera n’abavubuka ba kiwagi babakanudde. Gyebiggweeredde ng’abavubuka mukaaga bakwatiddwa wabula abeemuludde nebalabula nti ku bajjenero babiri, pulezidenti ne ssaabaduumizi wa poliisi Gen. Kale Kayihura tewaba alinnya Kawempe nga tasabye bavubuka bano lukusa.