Aba NRM E Makindye Bakyaye Sentebe

0
1459

Bannakibiina kya NRM okuva e Makindye bagumbye ku kitebe kya NRM wano mu kampala nga bawakanya obukulembeze bwekibiiina kyabwe mu aMakindye obwabaviirako okugwa byotolabanga.
Bannakibiina kino nga bakulembeddwa eyali omubaka wa Makindye East John Ssimbwa bakwasizza abakulembeze ba NRM omukuuku gw’ebbaluwa omuli okwemulugunya kwabwe nga baagala ssentebe waabwe Lukyamuzi Hussein agobebwe.
Mu bimu ku bigobya ssentebe Lukyamuzi kwekugaana okubagabula keeki Pulezidenti Museveni gyeyabagabula bweyali ajaganya olw’obuwanguzi bweyatuukako ku kisaawe e Kololo.