Ababaka Baakulambula Enguudo Zonna

0
793

Embera yobubenje obunji obweyongedde ku nguudo za uganda zi mwasa njala ewalirizza ababaka ba paalimenti abatuula ku kakiiko akakola ku byenguudo okuyita minisita akola ku byenguudo okulabikaako mu kakiiko kano, abannyonyole ekiviiriddeko omusaayi okweyongera okuyiika ku nguudo za Uganda.
Ababaka era bategezeza nga bwebagenda nabo okusitukiramu balambule enguudo gamba nga olw’e Masaka, Jinja, Fortportal nabo okusobola okuzuula ekiviiriddeko obubenje buno.