Abamawulire Bawabudde Kayihura

0
824

Bannakyewa abalwanilira eddembe ly’abamawulire aba Human Rights Network For Journalists bakangudde ku ddoboozi nga balabula ssabaduumizi wa poliisi Gen Kale Kayihura akomye okubatiisatiisa nga bakola ogwabwe.
Bannakyewa bano balabudde Kayihura nti bwategendereze baakumukuba mu mbuga olw’okuyisa amaaso mu bannamawulire.
Kiddiridde Kayihura gyebuvuddeko okwogerera bannamawulire ebisongovu nga abalumiriza nti balabe ba poliisi nti era bamulaalaasa.