Ekikukusabantu Kyeetaga Mateeka

0
1218

Poliisi eweze nga bwegenda okusindiikiriza eky’okukola enongosereza mu tteeka elikugira okukukusa abantu abatwalibwa mu mawanga ag’ebweru, musobole okussibwamu akawayiro akalwanilira eddembe ly’abannayuganda abakolera ebweru.
Kino kizzewo oluvannyuma lw’omuwendo gw’abantu abakukusibwa okutwalibwa mu mawanga ag’ebweru okweyongera sso nga bangi bakolera mu mbeera mbi nnyo eyo emitala w’amayanja.