Kkooti Eyise Kayihura Ayogere Ku Miggo

0
608

Kkooti e Makindye eyise ssabaduumizi wa poliisi Gen Kale Kayihura n’abaserikale ba poliisi abalala musanvu bennyonnyoleko ku misango egyabagguddwako egy’okukuba abawagizi ba Dr Kizza Besigye nga abakuba eky’okuttale.
Kino kiddiridde abamu ku bantu abaakubwa emiggo gyebuvuddeko Besigye bweyali ayimbuddwa okuva mu kkomera n’ebweyali agenda e Najjanankumbi okukuba olukungaana lwa bannamawulire okwekubira enduulu ew’omulamuzi Juliet Nakitende nga bagamba nti batulugunyizibwa ekitenkanika.