Minisita Afumuddwa Mu Paalimenti

0
1062

Kkooti enkulu e Mbale esazizzaamu okulondebwa kwa minisita Sarah Opendi, ku kifo ky’omubaka omukyala owa disitulikiti ey’e Tororo oluvanyuma lw’okukikakasa nti akalulu kano kaalimu emivuyo mingi.
Munna NRM Ayo Jacinta yeyawawabira Opendi nga awakanya okulondebwa kwe era obujulizi bwe bukakasizza omulamuzi Margaret Ouma bwa n’alagira akalulu kano kaddibwemu.
Sarah Opendi ye minisita w’ebyobulamu ebisookerwako era ye minisita ow’okusatu kati, okujjibwa mu paalimenti.