Walusimbi, Mayiga Batambuzza Buganda

0
1127

Oluvanyuma lwa Dan Muliika okufuluma woofisi y’obwa Katikkiro ,Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yalonda Amb. Emmanuel Ssendawula akuume woofisi.
Ssendawula woofisi yagikuuma okumala omwaka mulamba olwo mu 2008, Kabaka ddamula yagikwasa Yinginiya John Baptist Walusimbi kyoka oluvanyuma lw’emyaka etaano, yasiima n’agikwasa Katikkiro Charles Peter Mayiga aliko kati.
Mu bukulembeze bw’ababiri bano Buganda erabiddemu bingi era byetutunuulidde olwaleero, wakati mu kwetegekera amatikkiro g’omutanda ag’omulundi ogw’a 23.