Abasobya Kubaana Bavunaanibwe – Kabaka

0
1059

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II agguddewo olukiiko lwa Buganda olutuula olwomulundi ogwa 24 oluvanyuma lwokugalawo olukiiko olukadde olwa 23.
Mu lukiiko luno mwasinzidde nalagira Obuganda okwongera amanyi mu kulwanyisa emizze gyokutulugunya abaana omuli n’okubasaddaaka.
Omutanda bwatyo era asabye gavumenti eya wakati esseewo amateeka amakakali ku bantu abkyefunyiridde ku kutyoboola eddembe ly’abaana.
Dean Lubowa Ssaava abadde ku mbuga