Omusango Gwa Kayihura Gukwasiddwa Ssabawaabi

0
985

Ba puliida ababadde beewaddeyo okulumiriza Gen Kale Kayihura ku musango ogw’okukuba abantu emiggo kyaddaaki babiggyemu enta, omusango bagulekedde ssaabawaabi wa gavumenti y’aba amulumiriza.
Bannamateeka bano bategeezezza kkooti nti baatuuse ku kukkaanya ne ssaabawaabi wa gavumenti, ne basalawo omusango agutwale mu maaso kubanga ne ssemateeka amukkiriza.
Wabula yo kkooti enkulu enkya ku lw’okusatu lw’esalawo eggoye ku buyinza bwa ssaabawaabi wa gavumenti mu musango guno.