Ssaabawaabi Kkooti Emuwadde Omusango Gwa Kayihura

0
1086

Kkooti enkulu mu butongole ekkirizza ssaabawaabi wa gavumenti okweddiza omusango gwa ssaabaduumizi wa police Gen Kale Kayihura, mw’avunaanirwa okutulugunya bannayuganda.
Omulamuzi wa kkooti enkulu Joseph Murangira agambye nti Ssaabawaabi wa gavumenti teyalina na kusooka kusaba.
Kiddiridde entegeeragana eyatuukiddwaako ne bannamateeka nga bano bakkaanyizza okukolera awamu okulumiriza Kayihura okukuba bannayuganda emiggo.