Kkooti Yamajje Tesobola Kumpozesa – Kabaziguruka

0
1023

Omubaka w’e Nakawa Micheal Kabaziguruka n’abalala bana bawakanyizza ekyokubawozesereza mu kkooti y’amagye ngate bo si bannamagye.
Kabaziguruka ne banne beebamu ku bantu 24 abavunaanibwa okwagala okusuula gavumenti nga bakozesa eryanyi ery’emmundu nga kigambibwa nti baakozesa amagezi gaabwe n’obukodyo okuyingira amagye ga UPDF nekigendererwa kyokutaataaganya amagye gano.