Ababaka Ba Buganda Batabukidde Batakiika

0
609

Ebbugumu lya maanyi mu kabondo k’ababaka ba paalimenti abava mu Buganda nga beetegekera okulonda abakulembeze babwe.
Mu kiseera kino ababaka batadde Akaka nga bagamba nti mu bbo mulimu abeenonyeza ebyabwe, abeerimbika mu kabondo kano n’ekigendererwa eky’okufuna obuganzi mu gavumenti.
Bannaabwe ab’engeri eyo babawemukidde nti tebaddamu okwesimbawo, kuba ku luno baagala abo abakulembeze Buganda so si nsonga zabwe ng’abantu.