Ababaka Baagala Ssente Z'ettaka lya UBC

0
1245

Paalimenti ezzeemu okuyuta abanene mu ttivi ya Gavt UBC nga eyagala emanye omutuufu eyakwata sente zettaka obuwumbi e 10 ne byezaakola. Mu kiseera kyekimu amyuka ssentebe w’akakiiko ka Paalamenti akavunanyizibwa ku bitongole bya Gavt, Amongin Anita era atutegeezezza nti ayise omukungu w’ebyettaka, Sarah Kulata abannyonnyole lwaki yakyusa ekyapa k’ettaka lino emirundi esatu mudaakika 10 zokka.