Abakozi Ba Univaasite Beesozze Akafubo ne Pulezidenti Museveni

0
590

President Yoweri Museveni ng’akozesa obuyinza bwe ng’omukulembeze w’eggwanga alagidde minisitry y’ebyensimbi yekwanyekwanye esasule ebbanja ly’abakozi ba university abali mu keediimo.
President abadde asisinkanye abakozi mu makaage e Ntebe, era agenze okubiyingiramu ng’akeediimo k’abakozi kafuuse ensonga, abakozi bagaanye okuggula university abayizi basome era akeediimo kabadde kakutte mu wiiki ey’okusatu.
Abakozi ba university za gavumenti baasalawo okwediima nga baagala gavumenti ebasasule ensimbi z’ennyongeza ku musaala gwabwe, president ze yabasuubiza omwaka oguwedde.