Abakozi Ba Yunivaasite Beedimye

0
568

Olwaleero emirimu gibadde misannyalavu ku university za gavumenti zonna, abakozi basazeewo okwediima nga baagala bongezebwe omusaala ng’omukulembeze w’eggwanga bwe yabasuubiza.
Abakozi ba university za gavumenti zonna 6 bagamba nti omwaka ogwayita baayimiriza akeediimo kabwe nga president abasuubizza okubongeza obuwumbi 28, bazirinze tebazirabako era beeweze obutadda ku mirimu okutuusa nga basasuddwa. Akeediimo ka bano katandikiddewo okukosa emirimu ku University ezo, nga Moses Walugembe bw’annyonnyola.