Abapangisa Ebizimbe Mu Kampala Mwesuneko

0
766

Ababaka ba paalaimenti bawanvuyizza aku maloboozi ku kya ba nnyini bizimbe wano mu Kampala ababipangisa mu doola.
Ababaka baweze okuvaayo n’etteeka erikoma ku ba landlord abanyunyunta bannayuganda mu nkola eno. Abapangisa ebizimbe bya bizinensi wano mu Kampala baludde ng’ensonga y’okubawooza mu doola ebabobbya emitwe, era beekubiridde enduulu enfunda eziwera.