Abapoliisi Abaakuba Abantu Balaajanye

0
971

Abaserikale abavunaanibwa ogw’okukuba abawagizi ba Dr Kizza Besigye emiggo wano gyebuvuddeko bawanjagidde kkooti ya poliisi okubasonyiwa nga bagamba nti omusango gwebazza ssi gwegusinga ebibi poliisi byezze ekola.
Mu buufu bwebumu, waliwo abajulizi abaleeteddwa olwaleero mu kkooti ya poliisi era nebabaako abaserikale n’omu ku bayamba ku poliisi okulwanyisa obumenyi bw’amateeka bebalumirizza okuba nti bebamu ku baakuba abawagizi ba Col Kizza Besigye ku ntandikwa y’omwezi guno.
Abajulizi bano nga nabo baserikale balumirizza bannabwe okumenya amateeka agabafuga nebadda ku bantu nebabakuba okukira abakuba eky’okuttale.