Abasawo Abalala Baakugobwa – Minisita

0
443

Oluvannyuma lwa president okugoba abasawo ku ddwaaliro ly’e Mpummudde, Minisita w’ebyobulamu Dr Ruth Achieng akinogaanyizza nti gavumenti tejja kutuula, ebikwekweto eby’okulondoola amalwaliro bikyayinda okwetoloola eggwanga lyonna.
Minisita Achieng alidde mu ttama, n’alabula abakozi ba ssemugayaavu nti leero luno bubakeeredde, gavumenti tejja kukwatibwa nsonyi kubagoba.
Bino minisita abitegeezezza akakiiko ka paalimenti akalondoola eby’obulamu, n’agamba nti bakooye abakozi abalya obulyi ensimbi nga tebakola, era beerinde kubanga baakuggulwako emisango.