Abasomesa Basitudde Buto Enkundi – UNATU

0
663

Abasomesa bawadde Gavt ennaku 90 okubawa ensimbi zaabwe eza SACCO ezaasigalayo oba ssi kkyo, balabe akabafaamu.
Abasomesa bano abegattira mu kibiina kyabwe ekya National Teachers’ Union era Gavt bagiwadde akakwakkulizo nti ensimbi zino balina n’okuzireeteerako amagobo. Gavumenti yawa abasomesa obuwumbi bwa Siringi 15.4 zibayambe okutandikawo emirimu egy’okwekulakulanya basobole okwongera mu nfuna yaabwe. Olwaleero werutuukidde nga baakafunako obuwumbi 5.6 nga bakyasuubirayo 9.8.