Abasuubuzi ku Katale e Kireka Bagobye Ssentebe

0
558

Emirimu gisanyaladde olwaleero mu katale k’e kireka, oluvanyuma lw’abasuubuzi mu katale kano okuyimiriza emirimu jabwe nga beemulugunya ku bukulembeze bwabwe n’engeri gyababajjamu ensimbi. Abasuubuzi bano bagamba nti newankubadde ensimbi babadde bazisasula naye mpitirivu nnyo era zibayinze kyokka nga n’ekisinga okubenyamiza nti obuweera ate bwakibogwe.